2 Samuel 7:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'agamba Natani omulanzi nti: “Laba nze nsula mu nnyumba ya miti gya ntolookyo, sso nga yo Ssanduuku ya Katonda ebeera mu weema buweema!”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’agamba Nasani nnabbi nti, “Laba ntudde mu lubiri olwazimbibwa n’emivule, naye essanduuko ya Katonda eri mu weema.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo kabaka n'agamba Nasani nnabbi nti, “Laba nno, nze nsula mu nnyumba ey'emivule naye nga essanduuko ya Mukama nga eri mu weema.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'agamba omulanzi Natani nti: “Laba nze nsula mu nnyumba ey'emivule, naye Essanduuko ya Katonda ebeera mu weema!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo kabaka n'agamba Nasani nnabbi nti Laba nno, nze ntuula mu nnyumba ey'emivule, naye essanduuko ya Katonda etuula munda w'ebitimbe.