2 Samuel 7:20 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi akyalinayo ki ekirala ky'anaakugamba? Anti ayi Mukama Omuyinza, omuweereza wo omumanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kiki ekirala Dawudi kyayinza okukugamba, kubanga ggwe, Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kiki ekirala nate, nze Dawudi ky'enyinza okukugamba? Kubanga Ayi Mukama Katonda omanyi omuddu wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ate kiki ekirala nze Dawudi kye nnyinza okukugamba? Ommanyi nze omuweereza wo Ayi Mukama Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kiki Dawudi ky'ayinza okukugamba nate? kubanga omanyi omuddu wo, ai Mukama Katonda.