2 Samuel 7:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku lw'ekigambo kyo, ng'ogoberera omutima gwo, okoze ekintu kino kyonna ekikulu ate n'okimanyisa omuweereza wo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olw’ekigambo kyo n’olw’okusiima kwo, okoze ebintu bino ebikulu, n’obimanyisa omuddu wo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'ekigambo kyo era ng'omutima gwo gwe bwe guli kyovudde okola ebikulu ebyo byonna, n'otegeeza omuddu wo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okoze ekintu kikulu okumanyisa nze omuweereza wo, ekyo ky'osuubiza ng'okiggya mu mutima gwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Olw'ekigambo kyo era ng'omutima gwo gwe bwe guli kyovudde okola ebikulu ebyo byonna, okutegeeza omuddu wo.