2 Samuel 7:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'oli mukulu, ayi Mukama Omuyinza! Teri akufaanana; teri na Katonda mulala, okuggyako ggwe, mu byonna bye twawulira n'amatu gaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ng’oli mukulu, Ayi Mukama Katonda! Tewali akwenkana, era tewali Katonda wabula ggwe, nga bwe twewuliridde n’amatu gaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ky'obeeredde omukulu, ayi Mukama Katonda; kubanga tewali akwenkana, so tewali Katonda mulala wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twakawulira n'amatu gaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'olwekyo oli mukulu, ayi Mukama Katonda! Tetuwulirangako nga waliwo akwenkana, era oba nti waliwo Katonda omulala okuggyako ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ky'obeeredde omukulu, ai Mukama Katonda: kubanga tewali akwenkana, so tewali Katonda wabula ggwe, nga byonna bwe biri bye twakawulira n'amatu gaffe.