2 Samuel 7:23 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwanga liruwa eriri ng'abantu bo, eriri nga Yisirayeli: eggwanga lyokka mu nsi Katonda lye yagenda anunule babe abantu be, yessizeewo erinnya, akole ebikuuno n'eby'entiisa ng'agobawo, amawanga ne balubaale baago, mu maaso g'abantu bo be weenunulira mu Misiri?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ggwanga ki mu nsi erifaanana ng’abantu bo Isirayiri, eggwanga Katonda lye yeenunulira, ne yeekolera erinnya, n’abakolera ebintu ebikulu eby’amagero bwe yagoba amawanga ne balubaale baabwe mu maaso g’abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ggwanga ki mu nsi erifaanana abantu bo Isiraeri, Katonda be yenunulira okuba abantu be! Ebintu ebikulu eby'entiisa bye wa bakolera byayatikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala ne bakatonda baabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era ggwanga ki eddala ku nsi eriri ng'ery'abantu bo Abayisirayeli, ggwe Katonda be wanunula okuba abantu bo! Ebintu ebikulu n'ebyewuunyo bye wabakolera, byayatiikiriza erinnya lyo mu nsi yonna. Wagoba ab'amawanga amalala ne balubaale baabwe, ne basegulira abantu be weenunulira okuva e Misiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ggwanga ki erimu mu nsi erifaanana abantu bo, erifaanana Isiraeri, Katonda be yagenderera okwenunulira okuba abantu be, n'okwekolera erinnya, n'okubakolera ebikulu, n'okukolera ensi yo eby'entiisa, mu maaso g'abantu bo be weenunulira okuva mu Misiri, okubaggya mu mawanga ne bakatonda baabwe?