2 Samuel 7:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Weeteerawo bw'otyo abantu bo Yisirayeli babe bantu bo emirembe gyonna; ate naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Onywezezza abantu bo, Isirayiri ng’ababo ddala emirembe gyonna era ggwe Ayi Mukama wafuuka Katonda waabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bo Abaisiraeri n'obafuula abantu bo emirembe gyonna; naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abayisirayeli wabafuula abantu bo emirembe gyonna, era naawe Mukama n'ofuuka Katonda waabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne weenywereza abantu bo Isiraeri okuba abantu gy'oli ennaku zonna; naawe, Mukama, n'ofuuka Katonda waabwe.