2 Samuel 7:25 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Awo nno, ayi Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muweereza wo ne ku nnyumba ye kinyweze emirembe gyonna; kola nga bw'osuubizza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano, Ayi Mukama Katonda, otuukirize ekyo kye wasuubiza omuddu wo n’ennyumba ye okole nga bwe wasuubiza,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kaakano, ayi Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinyweze ennaku zonna, era kola nga bw'oyogedde.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Era kaakano, ayi Mukama Katonda, nywezanga ennaku zonna ky'osuubizza nze omuweereza wo n'ab'ennyumba yange, era okole nga bw'ogambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kaakano, ai Mukama Katonda, ekigambo ky'oyogedde ku muddu wo ne ku nnyumba ye kinyweze ennaku zonna, era kola nga bw'oyogedde.