2 Samuel 7:26 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olwo erinnya lyo lirigulumizibwa emirembe gyonna, n'abantu baligamba nti: ‘Omukama w'Amagye ye Katonda wa Yisirayeli,’ n'ennyumba y'omuweereza wo Dawudi erinywera mu maaso go.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
erinnya lyo ligulumizibwenga emirembe gyonna, n’abantu boogerenga nti, ‘ Mukama ow’Eggye ye Katonda wa Isirayiri,’ era n’ennyumba ey’omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era erinnya lyo ligulumizibwe ennaku zonna, nga boogera nti, ‘Mukama ow'eggye ye Katonda afuga Isiraeri, n'ennyumba ey'omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ogulumizibwe emirembe gyonna, nga bagamba nti: ‘Mukama Nnannyinimagye ye Katonda afuga Yisirayeli.’ Era onyweze ab'ennyumba yange emirembe gyonna,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era erinnya lyo ligulumizibwe ennaku zonna, nga boogera nti Mukama ow'eggye ye Katonda afuga Isiraeri: n'ennyumba ey'omuddu wo Dawudi erinywezebwa mu maaso go.