2 Samuel 7:27 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti ayi Mukama w'Amagye, Katonda wa Yisirayeli, kino okibikkulidde omuweereza wo nti: ‘Nzija kukuzimbira ennyumba.’ Omuweereza wo kyavudde azuula amaanyi okwegayirira gy'oli mu ssaala eno.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Ayi Mukama ow’Eggye, Katonda wa Isirayiri, ekyo okibikkulidde omuddu wo ng’ogamba nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba,’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okuwaayo okusaba okwo gy’oli.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ggwe, ayi Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, obikkulidde omuddu wo, ng'oyogera nti, ‘Ndikuzimbira ennyumba;’ omuddu wo kyavudde ayaŋŋaanga okukusaba okusaba kuno.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama Nnannyinimagye, Katonda wa Yisirayeli, nze omuweereza wo ŋŋumye okukusinza bwe nti, kubanga ombikkulidde bino byonna, n'oŋŋamba nti bazzukulu bange olibafuula bakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ggwe, ai Mukama ow'eggye, Katonda wa Isiraeri, obikkulidde omuddu wo, ng'oyogera nti Ndikuzimbira ennyumba: omuddu wo kyavudde ayaŋŋanga okukusaba okusaba kuno.