2 Samuel 7:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kati kkiriza okuwa omukisa ennyumba y'omuweereza wo, bulijjo ebeere mu maaso go, kubanga ggwe, ayi Mukama Omuyinza, osuubizza; ng'owadde omukisa gwo ennyumba y'omuweereza wo eriweebwa omukisa emirembe gyonna.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale nno okkirize okuwa ennyumba ey’omuddu wo omukisa enywerere mu maaso go ennaku zonna, kubanga ggwe Ayi Mukama Katonda oyogedde, era ennyumba ey’omuddu wo eneebanga n’omukisa ennaku zonna.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna; kubanga ggwe, ayi Mukama Katonda, okyogedde, era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkusaba owe omukisa ab'ennyumba yange nze omuweereza wo, balyoke beeyongere okuganja mu maaso go ennaku zonna. Ayi Mukama Katonda, ab'ennyumba yange obawenga omukisa gwo emirembe gyonna, kubanga kino ggwe okisuubizza.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kale nno kkiriza okuwa omukisa ennyumba ey'omuddu wo, ebeerenga mu maaso go ennaku zonna: kubanga ggwe, ai Mukama Katonda, okyogedde: era ennyumba y'omuddu wo eweebwenga omukisa gwo ennaku zonna.