2 Samuel 7:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti: ‘Kino ky'agamba Omukama: Ggwe onoozimbira nze ennyumba mwe nnaasula?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Genda otegeeze omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba ey’okubeeramu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Genda ogambe omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti, Ggwe olinzimbira ennyumba gyendibeeramu?’
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Genda ogambe omuweereza wange Dawudi nti: ‘Mukama agamba nti: Si ggwe ogenda okunzimbira ennyumba mwe nnaabeeranga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Genda obuulire omuddu wange Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama nti Ggwe olinzimbira ennyumba gye mba mbeeramu?