2 Samuel 7:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sisulanga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu nsi y'e Misiri n'okutuusa ku lunaku lwa leero; mbadde nsenvulira mu weema ng'ekisulo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe naggya Abayisirayiri mu Misiri, ne leero. Ntambudde okuva mu kifo ekimu okudda mu kirala nga mbeera mu weema.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe n'aggya abaana ba Isiraeri mu Misiri, n'okutuusa leero, naye natambuliranga mu weema.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuviira ddala ku lunaku lwe naggya Abayisirayeli mu Misiri n'okutuusa kati, sibeerangako mu nnyumba, wabula natambuliranga mu weema.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga sibeeranga mu nnyumba okuva ku lunaku lwe nnaggya abaana ba Isiraeri mu Misiri, ne leero, naye natambuliranga mu weema ne mu nnyumba entimbe.