2 Samuel 7:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti: ‘Kino ky'agamba Omukama w'Amagye: Nakuggya mu malundiro, mu kulunda ndiga, olyoke obeere omukulembeze w'abantu bange, owa Yisirayeli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Kaakano tegeeza omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw’ati bw’ayogera Mukama, ow’Eggye nti, “Nakuggya mu ddundiro gye walundiranga endiga ne nkufuula omukulembeze w’abantu bange Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale nno bw'otyo bw'oba ogamba omuddu wange Dawudi nti, ‘Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nnakuggya ku kisibo ky'endiga, ng'ogoberera endiga, obeere omukulu w'abantu bange, owa Isiraeri;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Kale nno gamba omuweereza wange Dawudi nti: Nze Mukama Nnannyinimagye mmugamba nti: ‘Nakuggya ku gw'okulundanga endiga mu ttale, ne nkufuula omukulembeze w'abantu bange Abayisirayeli.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale nno bw'otyo bw'oba ogamba omuddu wange Dawudi nti Bw'atyo bw'ayogera Mukama ow'eggye nti Nakuggya ku kisibo ky'endiga, ng'ogoberera endiga, obeere omukulu w'abantu bange, owa Isiraeri: