2 Samuel 7:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yonna gy'oyise mbadde naawe, ne nkusalako abalabe bo bonna mu maaso go. Kati erinnya lyo nzija kulifuula tutumufu okwenkana ery'abo abatutumufu mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mbadde naawe buli gy’ogenze, era nzikiririzza abalabe bo bonna mu maaso go. Ndifuula erinnya lyo okuba ekkulu, ne liba ng’erimu ku g’abasajja ab’ekitiibwa ennyo mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nabanga naawe buli gye wagendanga, era nzikirizza abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya ekkulu ng'erinnya bwe liri ery'abakulu abali mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era nabanga naawe buli gye wagendanga yonna, ne nsaanyaawo abalabe bo bonna ng'olaba. Era ndikufuula wa ttutumu ng'abafuzi abatutumufu ennyo mu nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nabanga naawe buii gye wagendanga, era nzikirizza abalabe bo bonna mu maaso go; era ndikuwa erinnya ekkulu ng'erinnya bwe liri ery'abakulu abali mu nsi.