2 Samuel 8:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oluvannyuma, Dawudi yawangula Abafilisitiini n'abafufuggaliza ddala. Yaggya Metegi-Amma mu mikono gy'Abafilisitiini.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Oluvannyuma lw’ebyo, Dawudi n’awangula Abafirisuuti, n’abafuula abaddu be, n’awamba n’ekibuga kyabwe ekikulu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula; n'abawambako ekibuga Mesegamma.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo bwe byaggwa, Dawudi n'alwanyisa Abafilistiya n'abawangula, era n'abawambako Ekibuga Metegamma.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olwatuuka oluvannyuma lw'ebyo Dawudi n'akuba Abafirisuuti n'abawangula: Dawudi n'aggyayo olukoba lw'ekibuga nnyina w'ensi mu mukono gw'Abafirisuuti.