2 Samuel 8:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
n'atuma mutabani we Yoramu ewa kabaka Dawudi, amulamuseeko era amukulise okulwanyisa Adadeezeri n'amuwangula, kubanga Adadeezeri yalinga alwanagana ne Towu. Kadoramu n'atwala ebintu bya ffeeza, ebya zaabu n'eby'ekikomo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’atuma mutabani we Yolaamu eri kabaka Dawudi okumulamusaako, n’okumuyozaayoza okuwangula olutalo wakati we ne Kadadezeri. Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n’amutwalira ebintu bya ffeeza ne zaabu n’ebikomo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amuwangula; kubanga yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
n'atuma mutabani we Yoraamu eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumukulisa okuwangula Hadadezeri, kubanga Hadadezeri yali mulabe wa Toyi. Yoraamu oyo n'aleetera Dawudi ebirabo ebya ffeeza, n'ebya zaabu, n'ekikomo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo Toyi n'atuma Yolaamu mutabani we eri kabaka Dawudi okumulamusa n'okumwebaza, kubanga alwanye ne Kadadezeri n'amukuba: kubanga Kadadezeri yalwananga ne Toyi. Yolaamu n'aleeta wamu naye ebintu ebya ffeeza n'ebintu ebya zaabu n'ebintu eby'ebikomo: