2 Samuel 8:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yassa enkambi z'abatabaazi mu Edomu wonna. Abeedomu ne bafuuka baweereza ba Dawudi. Omukama yawanguzanga Dawudi yonna gye yagendanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’ateeka ebibinja bya baserikale mu Busuuli yonna, Abasuuli bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ateeka ebigo okubuna Edomu; Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga okuwangula buli gye yagendanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ateeka enkambi z'abaserikale wonna mu Edomu, ab'omu Edomu ne bafuuka baddu be. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ateeka ebigo mu Edomu; yateeka ebigo okubuna Edomu, Abaedomu bonna ne bafuuka baddu ba Dawudi. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.