2 Samuel 8:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'afuga Yisirayeli yonna; era Dawudi yakoleranga abantu be bonna ebikolwa eby'obutuufu n'obutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’afuga Isirayiri yenna, ng’afuga abantu be bonna mu bwenkanya ne mu mazima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna; Dawudi n'alamula abantu be mu mazima n'obwenkanya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'akulembera Yisirayeli yonna, era n'afuganga abantu be mu mazima n'obwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'afuga Isiraeri yenna: Dawudi n'asalira abantu be bonna emisango gya nsonga era gya mazima.