2 Samuel 8:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yalwanyisa ne Adadeezeri mutabani wa Rekobu, kabaka w'e Zoba, lwe yali agenze okuzza mu mikono gye ensi y'oku mugga Furaati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ate era Dawudi n’awangula Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w’e Zoba, bwe yali nga yeddiza amatwale ge ku Mugga Fulaati.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Dawudi n'awangula ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yali agenda okujeemulula amatwale ge agali waggulu w'omugga Fulaati.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi era n'awangula ne Hadadezeri mutabani wa Rehobu kabaka w'e Zoba, Hadadezeri oyo bwe yali ng'agenda okujeemulula amatwale ge engulu w'Omugga Ewufuraate.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Dawudi n'akuba ne Kadadezeri mutabani wa Lekobu, kabaka w'e Zoba, bwe yagenda okujeemulula amatwale ge ku Mugga.