2 Samuel 8:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yassa enkambi z'abatabaazi mu Aramu ekya Damasiko; Abaaramu ne bafuuka baweereza be, ne bawa n'omusolo. Omukama yawanguzanga Dawudi yonna gye yagendanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’assa ebibinja eby’abaserikale mu Busuuli e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu be, era ne bamuwanga obusuulu. Mukama n’awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko, Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'ateeka enkambi z'abaserikale mu Aramu eky'omu Damasiko, Abasiriya ne bafuuka abaddu be, ne bamuwanga omusolo. Mukama n'awa Dawudi obuwanguzi buli gye yagendanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Dawudi n'ateeka ebigo mu Busuuli obw'e Ddamasiko: Abasuuli ne bafuuka baddu ba Dawudi, ne baleeta ebirabo. Mukama n'amuwanga Dawudi okuwangula buli gye yagendanga.