2 Samuel 8:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi yatwala engabo eza zaabu ezaalinga n'abagabe ba Adadeezeri, n'azireeta mu Yeruzaalemu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’anyaga engabo eza zaabu ezasitulibwanga abaserikale ba Kadadezeri n’azireeta e Yerusaalemi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Dawudi n'anyaga engabo za zaabu abaweereza ba Hadadezeri ze baalina, n'azitwala e Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'anyaga engabo eza zaabu ezaali ku baddu ba Kadadezeri n'azitwala e Yerusaalemi.