2 Samuel 9:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'agamba nti: “Wakyaliwo ow'ennyumba ya Sawulo asigaddewo mmugirire ekisa olw'okubeera Yonatani?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’abuuza nti, “Wakyaliwo omuntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okulaga ekisa ku lwa Yonasaani?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'abuuza nti, “Wakyaliwo omuntu asigaddewo ku b'omu nnyumba ya Sawulo, mmukolere eby'ekisa ku lwa Yonasaani?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Dawudi n'abuuza nti: “Mu nnyumba ya Sawulo waliwo omuntu eyasigalawo, mmukolere eby'ekisa ku lwa Yonataani?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'ayogera nti Wakyaliwo asigaddewo ku nnyumba ya Sawulo, mmukole eby'ekisa ku lwa Yonasaani?