2 Samuel 9:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno ggwe n'abaana bo n'abaweereza bo mumulimire ennimiro ze, muleetenga amakungula, muzzukulu wa mukama wo afune emmere; ye Mefiboseti muzzukulu wa mukama wo ajja kulyanga ku mmeeza yange bulijjo.” Ziba yalina batabani be kkumi na bataano n'abaweereza amakumi abiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe ne batabani bo n’abaddu bo munaamulimiranga ettaka ne muleeta ebibala ebirivaamu, muzzukulu wa mukama wo abenga n’ekyokulya. Mefibosesi muzzukulu wa mukama wo, ye anaaliiranga ku mmeeza yange nange, ennaku zange zonna.” Ziba yalina abaana aboobulenzi kkumi na bataano n’abaddu amakumi abiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naawe onoomulimiranga emmere, ggwe ne batabani bo n'abaddu bo; era onooyingizanga ebibala omwana wa mukama wo abenga ne by'anaalyanga; naye Mefibosesi omwana wa mukama wo anaalyanga emmere ennaku zonna ku mmeeza yange.” Era Ziba yalina abaana kkumi na bataano (15) n'abaddu abiri (20).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe, ne batabani bo, n'abaweereza bo, munaalimiranga ab'omu nnyumba ya mukama wo oyo ennimiro, mubatwalirenga bye mukungudde, bafune bye balya. Kyokka ye Mefiboseti yennyini, anaaliiranga wamu nange ku lujjuliro.” Ziba yalina batabani be kkumi na bataano, n'abaweereza amakumi abiri.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naawe onoomulimiranga ettaka, ggwe ne batabani bo n'abaddu bo; era onooyingizanga ebibala omwana wa mukama wo abenga ne by'anaalyanga: naye Mefibosesi omwana wa mukama wo anaalyanga emmere ennaku zonna ku mmeeza yange. Era Ziba yalina abaana kkumi na bataano n'abaddu amakumi abiri.