2 Samuel 9:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ziba n'agamba kabaka nti: “Omuweereza wo ajja kutuukiriza byonna Mukama wange kabaka by'alagidde omuweereza we okukola.” Mefiboseti yaliiranga ku mmeeza ya kabaka, ng'omu ku batabani ba kabaka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Ziba n’agamba kabaka nti, “Nga bw’olagidde mukama wange kabaka, bwe kijja okukolebwa omuddu wo.” Mefibosesi n’aliiranga ku mmeeza ya Dawudi ng’omu ku balangira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Ziba n'agamba kabaka nti, “Mukama wange kabaka nga bw'alagidde omuddu we, bw'atyo omuddu wo bw'anaakolanga.” Bw'atyo Mefibosesi naaliranga ku mmeeza ya kabaka ng'omu ku baana ba kabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ziba n'agamba kabaka nti: “Mukama wange nja kukola byonna by'ondagidde.” Awo kabaka n'agamba nti: “Mefiboseti, anaaliiranga ku lujjuliro lwange, ng'omu ku batabani ba kabaka.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Ziba n'agamba kabaka nti Mukama wange kabaka nga bw'alagidde omuddu we, bw'atyo omuddu wo bw'anaakolanga. Mefibosesi, bwe yayogera kabaka, anaalyanga ku mmeeza yange ng'omu ku baana ba kabaka.