2 Samuel 9:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mefiboseti yalina mutabani we omuto, erinnya lye Mika; bonna abaabeeranga mu nnyumba ya Ziba baaweerezanga Mefiboseti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mefibosesi yalina mutabani we omuto, eyayitibwanga Mikka, ne bonna abaali ab’ennyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Mefibosesi yalina omwana omuto omulenzi, erinnya lye Mikka. Ne bonna abaabeera mu nnyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mefiboseti yalina mutabani we omuto erinnya lye Mikka. Era abo bonna abaabeeranga mu nnyumba ya Ziba, ne bafuuka baweereza ba Mefiboseti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Mefibosesi yalina omwana omuto omulenzi, erinnya lye Mikka. Ne bonna abaabeera mu nnyumba ya Ziba baali baddu ba Mefibosesi.