2 Samuel 9:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ye Mefiboseti yasulanga mu Yeruzaalemu, kubanga bulijjo yaliiranga ku mmeeza ya kabaka; ate yali mulema amagulu gombi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mefibosesi n’abeera mu Yerusaalemi kubanga yaliiranga ku mmeeza ya kabaka. Yali yalemala ebigere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mefibosesi n'abeera mu Yerusaalemi; kubanga bulijjo yaaliranga ku mmeeza; era yalemala ebigere bye byombi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mefiboseti eyali alwadde amagulu gombi, n'abeera mu Yerusaalemu, n'aliiranga ku lujjuliro lwa kabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mefibosesi n'abeera mu Yerusaalemi: kubanga yalyanga bulijjo ku mmeeza ya kabaka; era yalemala ebigere bye byombi.