2 Samuel 9:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kabaka n'amubuuza nti: “Wakyasigaddewo omulala ow'ennyumba ya Sawulo gwe nsobola okugirira ekisa kya Katonda?” Ziba n'agamba kabaka nti: “Wakyaliyo mutabani wa Yonatani; mulema amagulu gombi.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’amubuuza nti, “Tewaliwo muntu mu nnyumba ya Sawulo eyasigalawo gwe nnyinza okukolera ebirungi olw’ekisa kya Katonda?” Ziba n’addamu kabaka nti, “Wakyaliwo mutabani wa Yonasaani, eyalemala ebigere.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'amubuuza nti, “Tewakyali wa nnyumba ya Sawulo mmukolere eby'ekisa kya Katonda?” Ziba n'addamu kabaka nti, “ Wakyaliwo omwana wa Yonasaani, eyalemala ebigere.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'amubuuza nti: “Waliwo omuntu eyasigalawo mu nnyumba ya Sawulo, mmulage ekisa kya Katonda?” Ziba n'addamu kabaka nti: “Wakyaliyo mutabani wa Yonataani eyalemala amagulu.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'ayogera nti Tewakyali wa nnyumba ya Sawulo mmukole eby'ekisa kya Katonda? Ziba n'agamba kabaka nti Wakyaliwo omwana wa Yonasaani, eyalemala ebigere.