2 Samuel 9:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'agamba nti: “Ali ludda wa?” Ziba n'agamba kabaka nti: “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammyeli mu Lo-Debari.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kabaka n’amubuuza nti, “Ali ludda wa?” Ziba n’amuddamu nti, “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kabaka n'amubuuza nti, “ Ali ludda wa?” Ziba n'agamba kabaka nti, “Laba, ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kabaka n'amubuuza nti: “Ali ludda wa?” Ziba n'amuddamu nti: “Ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeeli ow'omu Lodebari.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kabaka n'amugamba nti Ali ludda wa? Ziba n'agamba kabaka nti Laba, ali mu nnyumba ya Makiri mutabani wa Ammiyeri mu Lodebali.