2 Samuel 9:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mefiboseti mutabani wa Yonatani, mutabani wa Sawulo, bwe yajja ewa Dawudi, n'agwa wansi ku maaso ge, n'amuvunnamira. Dawudi n'agamba nti: “Mefiboseti.” N'addamu nti: “Nzuuno omuweereza wo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mefibosesi mutabani wa Yonasaani, muzzukulu wa Sawulo n’ajja eri Dawudi n’avuunama mu maaso ge. Dawudi n’amubuuza nti, “Ggwe Mefibosesi?” N’addamu nti, “Nze wuuyo omuddu wo.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani muzzukulu wa Sawulo n'ajja eri Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Dawudi n'amuyita nti, “Mefibosesi,” n'addamu nti, “Nze nzuuno omuddu wo.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Mefiboseti mutabani wa Yonataani era muzzukulu wa Sawulo, n'ajja eri Dawudi, n'avuunama ku ttaka ne yeeyanza. Dawudi n'amugamba nti:
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Mefibosesi mutabani wa Yonasaani mutabani wa Sawulo n'ajja eri Dawudi n'avuunama amaaso ge ne yeeyanza. Dawudi n'ayogera nti Mefibosesi. N'addamu nti Laba omuddu wo.