2 Samuel 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Dawudi n'amugamba nti: “Leka kutya, kubanga nkukakasa nti nzija kukugirira ekisa olw'okubeera Yonatani kitaawo; nzija kukuddiza ennimiro zonna ezaali eza Sawulo jjajjaawo, era ojja kuliiranga ku mmeeza yange bulijjo.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Dawudi n’amugamba nti, “Totya kubanga siireme kukukolera bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo. Nzija kukuddiza ettaka lyonna eryali erya jjajjaawo Sawulo, era onooliranga ku mmeeza yange.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Dawudi n'amugamba nti, “Totya; kubanga nja kukolera eby'ekisa ku lwa Yonasaani kitaawo, era ndikuddiza ebyalo byonna ebya Sawulo jjajjaawo; era onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Totya. Nja kukukolera eby'ekisa ku lwa kitaawo Yonataani. Ndikuddiza ettaka lyonna erya jjajjaawo Sawulo, era onooliiranga wamu nange ku lujjuliro.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Dawudi n'amugamba nti Totya: kubanga siireme kukukola bya kisa ku lwa Yonasaani kitaawo, era ndikuddiza ebyalo byonna ebya Sawulo jjajjaawo; era onoolyanga emmere ku mmeeza yange ennaku zonna.