2 Thessalonians 1:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
bw'alijja ku lunaku lw'alijja okugulumizibwa mu batuukirivu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza, kubanga mwakkiriza bye twabategeeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bw’alijja okugulumizibwa mu batukuvu be ku lunaku luli abo bonna abamukkiriza balyewuunya kubanga mwakkiriza bye twabategeeza ku ye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bw'alijja ku lunnaku olwo okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza (kubanga okutegeeza kwaffe gye muli kwakkirizibwa) ku lunaku luli.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebyo biribaawo ku lunaku lw'alijjirako okugulumizibwa mu batukuvu be, bonna abakkiriza ne bamulaba mu kitiibwa kye. Nammwe muliba wamu nabo, kubanga mwakkiriza ebyo bye twabategeeza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bw'alijja okuweebwa ekitiibwa mu batukuvu be, n'okwewuunyizibwa mu bonna abakkiriza (kubanga okutegeeza kwaffe gye muli kwakkirizibwa) ku lunaku luli.