2 Thessalonians 1:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize embeera gye yabayitira; olw'amaanyi ge abayambe mutuukirize buli kirungi kye mweteesa na buli bye mukola mu kukkiriza,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyetuva tubasabira bulijjo, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe. Abawe amaanyi mutuukirize ebirungi byonna bye mukola, na buli mulimu ogw’okukkiriza mu maanyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize buli kye mwagala eky'obulungi na buli mulimu gwe mukola olw'okukkiriza mu maanyi ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bulijjo kyetuva tubasabira eri Katonda waffe, abasaanyize ekyo kye yabayitira, era mu buyinza bwe, atuukirize ebirungi byonna bye mumaliridde okukola, ne bye mukola olw'okukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kyetuva tubasabira ennaku zonna, Katonda waffe abasaanyize okuyitibwa kwammwe, era atuukirize n'amaanyi buli kye mwagala eky'obulungi na buli mulimu ogw'okukkiriza;