2 Thessalonians 1:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
erinnya lya Mukama waffe Yezu ligulumizibwe mu mmwe, nammwe mutendebwe mu ye olw'eneema ya Katonda waffe n'Omukama Yezu Kristu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke ligulumizibwe mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye, ng’ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwerityo erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke liweebwe ekitiibwa mu mmwe, era nammwe mu ye ng'ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo Mukama waffe Yesu alyoke aweebwe ekitiibwa mu mmwe, nammwe muweebwe ekitiibwa mu ye. Ekyo kituukirizibwe olw'ekisa kya Katonda waffe, ne Mukama Yesu Kristo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
erinnya lya Mukama waffe Yesu liryoke liweebwe ekitiibwa mu mmwe, era nammwe mu ye, ng'ekisa kya Katonda waffe ne Mukama waffe Yesu Kristo bwe kiri.