2 Thessalonians 1:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe; era nga kisaanye, kubanga okukkiriza kwammwe kugenda kukula, n'okwagalana kwammwe okwa buli omu eri munne kugenda kweyongera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kitugwanidde okwebazanga Katonda bulijjo ku lwammwe abooluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kweyongedde nnyo okukula, awamu n’okwagalana kwammwe mwekka na mwekka,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, n'okwagalana kwa buli muntu kw'alina eri munne kweyongera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe. Ekyo tusaanye okukikola kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, era n'okwagala buli omu mu mmwe kw'ayagalamu banne kweyongera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda, nga bwe kisaana, kubanga okukkiriza kwammwe kukula nnyo, n'okwagalana kwa buli muntu ku mmwe mwenna mwekka na mwekka kweyongera;