2 Thessalonians 1:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekyo naffe ffennyini tubeenyumirizaamu mu Ekleziya za Katonda eyo yonna olw'obugumiikiriza bwammwe n'okukkiriza mu biyigganyizo byammwe byonna ne mu nnaku ze mugumiikiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ekyo ne kituleetera ffe ffennyini okubeenyumiririzaamu mu kkanisa za Katonda olw’okugumiikiriza kwammwe n’okukkiriza kwammwe wakati mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna awamu n’okubonaabona bye mugumiikiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe bennyini n'okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw'okugumiikiriza kwammwe n'okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n'okubonaabona bye mugumira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naffe ffennyini kyetuva twenyumiriza ku lwammwe mu bibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo. Twenyumiriza olw'okugumiikiriza n'olw'okukkiriza kwammwe mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna, ne mu kubonaabona bye mugumira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naffe bennyini n'okwenyumiriza ne twenyumiririzanga mu mmwe mu kkanisa za Katonda olw'okugumiikiriza kwammwe n'okukkiriza mu kuyigganyizibwa kwammwe kwonna n'okubonaabona kwe muzibiikiriza;