2 Thessalonians 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kw'olabira ensala ya Katonda entuukirivu mw'ayagalira musaanire obwakabaka bwa Katonda obubalabisa nammwe ennaku kati.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ako kabonero akalaga nti Katonda mutuukirivu mu kulamula kwe, mmwe mulyoke musaanire obwakabaka bwa Katonda, bwe mubonaabonera,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebyo ke kabonero k'omusango gwa Katonda ogw'ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n'okubonaabona bwe mubonaabonera.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekyo kiraga nti Katonda mwenkanya mu kulamula kwe, kubanga ku nkomerero mulisaanira Obwakabaka bwa Katonda bwe mubonaabonera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ebyo ke kabonero k'omusango gwa Katonda ogw'ensonga; mulyoke musaanyizibwe obwakabaka bwa Katonda, n'okubonaabona bwe mubonaabonera: