2 Thessalonians 1:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ate mmwe ababonaabona kati n'abawa ekiwummulo wamu naffe luli Omukama Yezu lw'alyolekebwa ng'ava mu ggulu wamu ne bamalayika ab'obuyinza mu muliro ogubumbujja,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era nammwe abanyigirizibwa muliweerwa wamu naffe ekiwummulo, mu kubikkulirwa kwa Mukama waffe Yesu bw’aliva mu ggulu, ne bamalayika be ab’amaanyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okuwummula awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika be ab'obuyinza mu muliro ogwaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ate mmwe ababonyaabonyezebwa n'abawa ekiwummulo awamu naffe. Ebyo biribaawo Mukama waffe Yesu bw'alirabika ng'ava mu ggulu, ng'ali ne bamalayika be ab'amaanyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era nammwe ababonyaabonyezebwa okubasasula okwesiima awamu naffe, mu kubikkulibwa kwa Mukama waffe Yesu okuva mu ggulu awamu ne bamalayika ab'obuyinza bwe,