2 Thessalonians 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagenda kuweebwa ekibonerezo eky'okuzikirira okw'emirembe gyonna, n'okugobebwa awali Omukama n'awali ekitiibwa ky'amaanyi ge,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo baliweebwa ekibonerezo kya kuzikirira emirembe n’emirembe, nga baawukanyiziddwa ne Mukama waffe, n’ekitiibwa ky’amaanyi ge.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balibonerezebwa, n'okuzikirira okw'emirembe n'emirembe, n'okugobebwa okuva mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky'amaanyi ge.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baliweebwa ekibonerezo eky'okuzikirira okw'emirembe n'emirembe, ne bagobebwa mu maaso ga Mukama oweekitiibwa ennyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abalibonerezebwa, kwe kuzikirira emirembe n'emirembe okuva mu maaso ga Mukama waffe ne mu kitiibwa ky'amaanyi ge,