2 Thessalonians 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
na buli kubuzaabuza kubi ku abo ab'okuzikirira kubanga bagaana okwagala amazima balyoke balokoke.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era n’obulimba obwa buli ngeri obw’obutali butuukirivu eri abo abazikirizibwa, kubanga bagaana okukkiriza amazima okulokolebwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
n'okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu eri abo ababula; kubanga bagaana okwagala amazima, balyoke balokoke.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era alikozesa buli kibi ekiyinza okukyamya abo ab'okuzikirira, kubanga baagaana amazima agandibalokodde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
n'okukyamya kwonna okutali kwa butuukirivu eri abo ababula; kubanga tebakkiriza kwagala mazima, balyoke balokoke.