2 Thessalonians 2:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
olwo abo bonna balyoke basalirwe omusango abo abatakkiriza mazima, wabula abasanyukira mu butali butuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era bonna balyoke basalirwe omusango olw’okukkiriza obulimba, ne bagaana amazima ne basanyukira okukola ebitali bya butuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abo bonna abatakkiriza mazima, balyoke basingibwe omusango, kubanga baasanyukira ekibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bonna balyoke basalirwe omusango abatakkiriza mazima naye abasanyukira obutali butuukirivu.