2 Thessalonians 2:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wamma bulijjo tuteekwa okwebaza Katonda ku lwammwe, abooluganda Omukama b'ayagala, kubanga Katonda yabalonda mu kusookera ddala mulokoke nga mutukuzibwa Mwoyo n'olw'okuba nga mwakkiriza amazima.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kitugwanidde okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, abooluganda abaagalwa mu Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye, ng’abatukuza olw’okukola kw’Omwoyo n’okukkiriza amazima,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abaagalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okukkiriza amazima.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, abaagalwa ba Mukama waffe, tuteekwa okwebaza Katonda bulijjo ku lwammwe, kubanga Katonda yabalonda, mube ababereberye mu kulokolebwa olw'amaanyi ga Mwoyo Mutuukirivu, abafuula abantu ba Katonda abatukuvu olw'okukkiriza amazima.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kitugwanidde ffe okwebazanga Katonda ennaku zonna ku lwammwe, ab'oluganda abaagalwa Mukama waffe, kubanga Katonda yabalondera obulokozi okuva ku lubereberye mu kutukuzibwa Omwoyo n'okukkiriza amazima