2 Thessalonians 2:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
awakanya era eyeepankira ku buli kyonna ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa; alyewaŋŋamya mu Kiggwa kya Katonda, ne yeeyita Katonda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oyo alivvoola Katonda ne yeegulumiza okusinga ebintu byonna nga yeeyita katonda oba ekissibwamu ekitiibwa atuule mu yeekaalu ya Katonda omwo nga yeefuula okuba Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu Yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Aliwakanya era alyegulumiza ku buli kintu ekiyitibwa Katonda, oba ekisinzibwa. Era alituukira ddala ne ku kutuula mu ssinzizo lya Katonda, nga ye yennyini yeeyita Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
aziyiza era eyeegulumiza okusinga buli kintu ekiyitibwa Katonda oba ekisinzibwa, n'okutuula n'atuula mu yeekaalu ya Katonda, nga yeeraga yekka nti ye Katonda.