2 Thessalonians 2:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugwenyufu bwekisizza, naye bwatandika dda okukola; oyo akyakwatiridde ajja kukola atyo okutuusa lw'aliggyibwawo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ekyama ky’obujeemu kyatandika dda okukola, naye ye yennyini tagenda kujja okutuusa oyo amuziyiza lw’aliva mu kkubo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ne kaakano ekyama eky'obujeemu weekiri kikola, wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw'aliggibwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obujeemu weebuli, bukolera mu kyama. Kyokka oyo abuziyiza ajja kubuziyiza okutuusa lw'aliggyibwawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ne kaakano ekyama eky'obujeemu weekiri kikola: wabula kyokka aziyiza kaakano okutuusa lw'aliggibwawo.