2 Thessalonians 2:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omubi olwo alirabika, naye Omukama alimuzikiriza n'omukka gw'akamwa ke, n'amusaanyaawo n'okulabika kwe n'amajja ge.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Olwo omuntu ow’obujeemu alyoke alabisibwe, Mukama waffe Yesu gw’alimalawo n’omukka ogw’omu kamwa ke n’amuzikiriza n’okulabisibwa kw’okujja kwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omujeemu oli n'alyoka abikkulwa, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kwe n'okujja kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo omujeemu oyo alirabika, Mukama Yesu waffe n'alyoka amutta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era n'amuzikiriza n'ekitiibwa kye ky'alijjiramu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo omujeemi oli n'alyoka abikkuka, Mukama waffe Yesu gw'alitta n'omukka ogw'omu kamwa ke, era gw'alizikiriza n'okulabisibwa kw'okujja kwe;