2 Thessalonians 3:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisembayo, abooluganda, mutusabire, ekigambo ky'Omukama kitolontoke, kifune ekitiibwa nga bwe kyakola eyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda, eky’enkomerero, mutusabirenga, ekigambo kya Mukama kibune mangu era Mukama agulumizibwenga, nga bw’agulumizibwa mu mmwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eky'enkomerero, ab'oluganda, mutusabirenga ekigambo kya Mukama waffe kibune mangu, era kiweebwenga ekitiibwa, era nga bwe kyali mu mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eky'enkomerero, abooluganda, mutusabire, ekigambo kya Mukama kiryoke kyeyongere okubuna amangu, era kiweebwe ekitiibwa, nga bwe kyali mu mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebisigaddeyo, ab'oluganda, mu tusabirenga ekigambo kya Mukama waffe, kiwulukuke, kiweebwenga ekitiibwa, era nga mu mmwe;