2 Thessalonians 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ndaba ne bwe twali eyo ewammwe, ekyo kye twabakuutira, nti oba oli tayagala kukola, n'okulya aleme kulya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ne bwe twali gye muli eyo, twabakuutira nti omuntu yenna bw’agaananga okukola emirimu, n’okulya talyanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga era bwe twali gye muli, twabalagira bwe tutyo nti Omuntu yenna bw'agaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ne bwe twali nga tukyali wamu nammwe, twabalagira nti: “Agaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga era bwe twali gye muli, twabalagira bwe tutyo nti Omuntu yenna bwagaananga okukola emirimu, n'okulya talyanga.