2 Thessalonians 3:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti tuwulira mbu abamu mu mmwe balendera bulendezi, basobeza abalala, tebalina kye bakola.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kyokka tuwulira nti mu mmwe mulimu abagayaavu abatayagala kukola, aboonoona ebiseera byabwe mu kusaasaanya eŋŋambo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula bulungi mu mmwe nga tebakola mirimu gyabwe n'akatono, wabula egy'abalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twawulira nti abamu mu mmwe bagayaavu, tebakola mirimu, wabula okweyingiza mu bya bannaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tuwulira nti eriyo abamu abatatambula bulungi mu mmwe nga tebakola mirimu gyabwe n'akatono, wabula egy'abalala.