2 Thessalonians 3:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba waliwo atawulira kigambo kye tubawandiikidde mu bbaluwa eno, oyo mumulambe, mumwesambe, alyoke aswale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era omuntu yenna bw’atagonderanga biragiro byaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegereze, muleme kukolagananga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era omuntu yenna bw'atagonderanga kigambo kyaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezanga, so temwegattanga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe wabangawo agaana okugoberera kye tugamba mu bbaluwa eno, mumugenderere, era muleme kukolagana naye, alyoke akwatibwe ensonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era omuntu yenna bw'atagonderanga kigambo kyaffe mu bbaluwa eno, oyo mumwetegerezanga, so temwegattanga naye, ensonyi ziryoke zimukwate.