2 Thessalonians 3:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okulamusa kuno nzennyini Pawulo nkuwandiise n'omukono gwange; ke kabonero ku buli bbaluwa yange; bwe ntyo bwe mpandiika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kuno kwe kulamusa kwange, nze Pawulo, mu mukono gwange, bwe ntyo bwe nkola ku nkomerero z’ebbaluwa zange zonna okulaga nti zivudde gye ndi. Bwe nti bwe mpandiika.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange, ke kabonero mu bbaluwa yonna, bwe ntyo bwe mpandiika.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nze Pawulo, okulamusa kuno nze nkuwandiise ne nteekako omukono. Ako ke kabonero akalaga buli bbaluwa gye mba mpandiise. Bwe ntyo bwe mpandiika.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kuno kwe kulamusa kwange Pawulo n'omukono gwange, ke kabonero mu bbaluwa yonna: bwe ntyo bwe mpandiika.