2 Thessalonians 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, mu linnya lya Mukama waffe Yezu Kristu, tubakuutira okweggya ku buli waaluganda adda mu kulendera, atagoberera mpisa ze mwatuyigirako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda abaagalwa, mbakuutira mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo ne mu buyinza bwe, mwewalenga abagayaavu abatayagala kukola mirimu ne balemwa okugoberera ekyokulabirako kye twabateerawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era tubalagira, ab'oluganda, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow'oluganda atatambula bulungi, newakubadde mu mpisa ze baaweebwa ffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale baganda bange, tubalagira mu linnya lya Mukama Yesu Kristo: mwewale abooluganda abagayaavu, era abatagoberera ebyo bye twabayigiriza mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era tubalagira, ab'oluganda mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo, mweyawulenga eri buli ow'oluganda atatambula bulungi newakubadde mu mpisa ze baaweebwa ffe.